Job 7

1 a“Ebiseera by’omuntu ku nsi, tebyagerebwa?
Ennaku ze tezaagerebwa nga ez’omupakasi?
2 bNg’omuddu eyeegomba ekisiikirize okujja,
ng’omupakasi bwe yeesunga empeera ye;
3 cbwe ntyo bwe nnaweebwa emyezi egy’okubonaabona,
ebiro ebyokutegana bwe byangererwa.
4 dBwe ngalamira neebake, njogera nti, ‘Ndiyimuka ddi, ekiro kinaakoma ddi?’
Nga nzijudde okukulungutana okutuusa obudde lwe bukya.
5 eOmubiri gwange gujjudde envunyu n’ebikakampa,
n’olususu lwange lukutusekutuse era lulabika bubi.

6 f“Ennaku zange zidduka okusinga ekyuma ky’omulusi w’engoye bw’atambuza ky’alusisa engoye ze;
era zikoma awatali ssuubi.
7 gOjjukira Ayi Katonda, nti obulamu bwange tebuliimu, wabula mukka bukka,
amaaso gange tegaliddayo kulaba bulungi.
8 hEriiso ly’oyo eryali lindabyeko teririddayo kundaba;
amaaso gammwe galinnoonya, naye nga sikyaliwo.
9 iNga ekire bwe kibulawo ne kigenda,
bw’atyo n’aziikwa mu ntaana talivaayo.
10 jTaliddayo mu nnyumba ye,
amaka ge tegaliddayo kumumanya nate.
11 kNoolwekyo sijja kuziyiza kamwa kange, nzija kwogera okulumwa kw’omutima gwange;
nzija kwemulugunyiza mu bulumi bw’emmeeme yange.
12 lNdi nnyanja oba ndi lukwata ow’omu buziba,
olyoke onkuume?
13 mBwe ndowooza nti, obuliri bwange bunampa ku mirembe,
ekiriri kyange kinakendeeza ku kulumwa kwange;
14 nn’olyoka ontiisa n’ebirooto
era n’onkanga okuyita mu kwolesebwa.
15 oEmmeeme yange ne yeegomba okwetuga,
nfe okusinga okuba omulamu.
16 pSikyeyagala, neetamiddwa. Sijja kubeera mulamu emirembe gyonna.
Ndeka; kubanga ennaku zange butaliimu.
17 qOmuntu kye ki ggwe okumugulumiza,
n’omulowoozaako?
18 rBw’otyo n’omwekebejja buli makya,
n’omugezesa buli kaseera?
19 sOlituusa ddi nga tonvuddeeko
n’ondeka ne mmira ku malusu?
20 tNyonoonye;
kiki kye nakukola, ggwe omukuumi w’abantu?
Lwaki onfudde nga akabonero ak’obulabe gy’oli,
ne neefuukira omugugu?
21 uEra lwaki tosonyiwa kwonoona kwange,
n’oggyawo obutali butuukirivu bwange?
Kubanga kaakano nzija kwebaka mu ntaana;
era ojja kunnoonya ku makya naye naaba sikyaliwo.”
Copyright information for LugEEEE